Micah 6:7-8

7 a Mukama alisiima endiga eza sseddume olukumi,
oba emitwalo gy’emigga gy’amafuta?
Mpeeyo omwana wange omubereberye olw’ebibi byange,
nga mpaayo ekibala ky’omubiri gwange olw’ekibi eky’emmeeme yange?
8 b Mukama akulaze, ggwe omuntu, ekirungi ky’oteekwa okukola.
Kaakano, Mukama kiki ky’akwetaaza,
okuggyako okukola eby’ensonga, okuba n’ekisa
era n’okutambulira mu buwombeefu ne Katonda wo.
Copyright information for LugEEEE